Abatuuze ku kyalo Kiwumpa ekisangibwa mu Ggombolola y’e Luwero bakyali mu kutya olw’obutemu obwakoleddwa ku baserikale ba Poliisi olunaku lw’eggulo, bwebatemeddwa ekyatuusiza n’omu okufa. Bagamba nti tebamanyi kiki abazigu kyebazaako kuba bakuliise n’emmundu bbiri era kati bayingirira kumu n’enkoko.